Genesis 12:17-20

17 aNaye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. 18 bAwo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo? 19Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.” 20Falaawo n’alagira basajja be ebikwata ku Ibulaamu, ne bamusindiikiriza n’ava mu nsi ne mukazi we ne byonna bye yalina.

Copyright information for LugEEEE